Psalms 104:6-9

6 aWagibikkako obuziba ng’ekyambalo;
amazzi ne gatumbiira okuyisa ensozi ennene.
7 bBwe wagaboggolera ne gadduka;
bwe gaawulira okubwatuka kwo ne gaddukira ddala;
8 cgaakulukutira ku nsozi ennene,
ne gakkirira wansi mu biwonvu
mu bifo bye wagategekera.
9Wagassizaawo ensalo ze gatasaana kusukka,
na kuddayo kubuutikira nsi.
Copyright information for LugEEEE